AMAKA GA BAWANSOLO

Ekitabo amaka ga bawansolo (animal farm) ky’awandiikibwa George Orwell mu Lungereza mu mwaka gwa 1954. Kino kikwata ku maka ga Bawansolo agaali gakulirwa omuntu (Jones), oluvannyuma Bawansolo ne bamunaabira mu maaso. Mwami Jones mu kunywa omwenge tamanyiiyo balala so nga ne Bawansolo abayisa ng’ekyonziira, kko n’okukwata obubi eby’obugagga bya farm.

Nnamukadde Wambizzi ayita Bawansolo bonna n’abalootolorera ekirooto kye ekintu ekyavaako okugobwa kw’omwana w’omuntu ku farm era ne batandika okuganyulwa mu ntuuyo zaabwe. Nga nnamukadde Wambizzi major amaze okufa, bawambizzi babiri Ssinobbo ne Nnapoliyoni baakulembera olutalo olwagoba Jones mu maka. Wabula ate oluvannyuma Nnapoliyoni obuyinza yabutamiira bwange n’atuuka n’okugoba munne Ssinobbo ku ffaamu. Nnapoliyoni yagejja olw’emirembe emingi so nga ate Bawansolo banne abalala ne beeyongera okukogga.

To comment about the program or participate in the discussion, scroll to the bottom of the page where you will find a comment area. We shall be very pleased to hear from you.

bar

ESSUULA I

Namukadde wambizzi major alootolorera bawansolo banne ekirooto kye yali aloose ekiro ekiyise. Ekiraga ensi ensuubize etaliimu kutulugunyizibwa kwa muntu, omujjudde essanyu wamu n’okuwaƞƞana ekitiibwa.


bar

ESSUULA II

Namukadde wambizzi afa nga yeebase. So nga mwami Jones asalawo okunywa omwenge neyeerabira okuwa ensoloze emmere. Bawante bakulemberamu bannaabwe ne balya emmere eyaliwo, okulwanagana ne kuddirira era okukakkana ng’abantu bagobeddwa ku farm.


bar

ESSUULA III

Bawambizzi bafuuka bakugu nnyo mu kusoma n’okuwandiika walifu, newankubadde nga ate musajja wattu Bbokisa teyasobola kusoma kusukka nnukuta ya D. Bawansolo balemwa okukusula amateeka omusanvu, Ssinobbo n’assaawo etteeka limu. (Magulu ana mulungi magulu abiri mulabe waffe”


bar

ESSUULA IV

Mwami Jones alabibwa nga yeekulubbeeseza ku maka ga Bawansolo, era Ssinobbo eyali asomye ebitabo ebikwata ku ntalo n’alagirwa okuteekateeka olutalo okubazindukiriza. Mu lutalo luno Wandiga yalufiiramu era n’aziikibwa ng’omuzira w’eggwanga.


bar

ESSUULA V/span>

Ssinobbo asoma ebitabo ebyali ebya Jones n’agwa ku nteekateeka y’okuzimba ekyuma ky’amasannyalaze. Nnapoliyoni teyakisanyukira era n’amugoba ne ku farm. Oluvannyuma lwa sabbiiti ssatu, Bawansolo ne balyoka baakitegeera nti ne Napoliyoni yali awagira enteekateeka y’ekyuma.


bar

ESSUULA VI

Nnapoliyoni apangisa munnamateeka “Wimpa” okumuyambako mu nsuubulagana wakati w’abansolo n’abantu. Ekyuma kizimbulwa omuntu ataategeerekeka era Nnapoliyoni n’alangirira okuwa Wansolo yenna akwata kalittima eyali akikoze.


bar

ESSUULA VII

Bawansolo bafunvubira ne bazzaawo ekyuma kyabwe newankubadde ng’emmere yagenda yeeyongera okukeewa. Nnapoliyoni akuba olukuƞƞaana mwe yawaliririza Bawansolo abamu okukkiriza nti baali beekobaanye ne sinobbo era Bawambwa ne babamiza omukka omusu.


bar

ESSUULA VIII

Oluvannyuma lw’omusaayi okuyiika, Bawansolo bakizuula nti etteeka eryali ligamba nti “Tewali wansolo ateekeddwa kutta munne” nga kati ligamba nti, “Tewali wansolo attanga munne ewatali nsonga yonna”


bar

ESSUULA IX

Emmere yeeyongera okubula, era buli wansolo n’asalibwako emmere gy’alya okuggyako Bawambizzi ne Bawambwa. Mu mwezi gw’omunaana, amaga ga Bawansolo galangirirwa ng’eggwanga ery’etongodde, era Nnapoliyoni n’afuuka president okuyita mu kalulu mweyeesimbirawo yekka.


bar

ESSUULA X

Emyaka nga gy’etolodde Bawansolo abasinga bakaddiwa era ne bafa. Ekyuma kikomekkerezebwa era Nnapoliyoni n’adda mu bulamu obw’eyagaza, anywa ku mmindi, ate bawansolo abalala ne batandika okusoma empapula z’amawulire, okukozesa essimu wamu n’okwambala engoye ez’abantu.


bar